More
    HomeEntertainmentYIIYO! Ssemaka abadde agikubira mu kiyigo ekiguddeko

    YIIYO! Ssemaka abadde agikubira mu kiyigo ekiguddeko

    Published on

    spot_img


    Ssemaka atabudde famire, asangiddwa ng’ali mu kiyigo n’omukozi w’awaka.


    Ssemaka Kalyango ali mu myaka 40 nga mutuuze we Kazo, Kawempe, awadde abatuuze ebigambo by’okwogera oluvanyuma lw’omukyala okumusanga n’omukozi mu kiyigo.

    Omukyala yakomyewo akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 12, kwe kusanga bba nga yakomyewo dda.


    Okutuuka mu nnyumba, nga mu ddiiro abaana bali ku TV balaba kazannyo.

    Omukyala maama Jane agamba nti okutuuka mu kisenge nga bba ava mu kiyigo n’omukozi mbu yabadde ava kunaaba.


    Kalyango mu ngeri y’okwewozaako, agamba nti yafunye endwadde y’olususu ‘oluwumu’, kwe kuyita omukozi w’awaka okumusiiga kuba abadde yafunye eddagala.

    Agamba nti naye muntu, era ayagala nnyo mukyala we nga tayinza ate kudda ku mukozi waabwe, kusinda mukwano kuba mukyala we amuwa ekitiibwa.


    Omukozi ng’ali mu myaka 19, naye agamba nti yabadde mu ddiiro ng’alaba kazannyo, Ssemaka Kalyango kwe kumuyita okumusiiga ku ddagala.

    Wadde omukozi asobodde okwewozaako, ate empale ye langi ya bulaaka esangiddwa mu kiyigo, ekyongedde okutabula omukyala maama Jane.


    Omukozi agobeddwa!

    Wadde omukozi abadde akola bulungi nnyo emirimu gye, omukyala maama Jane amugobye mu makaage.


    Maama Jane agamba nti tayinza kuleka mukyala muggyawe mu nnyumba kuba kati avudde ku mulamwa.

    Ku ssaawa 1:24 ey’ekiro, omukozi yafulumye ennyumba okugenda era yasobodde okulinya bodaboda okudda mu kyalo.

    Bba alemeddeko!

    Ssemaka Kalyango alemeddeko, agamba nti wadde omukozi agobeddwa, abadde tasobola kwebaka naye.

    Agamba nti yabadde asobola okuyita mukyala we maama Jane okuyamba okumusiiga eddagala naye yabadde akyali ku mulimu.

    Wakati mu batuuze nga basakaanya, Kalyango naye yavudde mu mbeera era yatabukidde mukyala we okumuswaza mu bantu, okuwebuula ekitiibwa kye.

    Kalyango agamba nti omukozi okugenda mu bwangu, asobodde okutwala eddagala lye kyokka abadde tannaba kukwata linnya lya ddagala.

    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5Wzg1ExQohc&t=73s



    Source link

    Latest articles

    Mozelo Kidz and partner welcome baby girl

    On the night of Wednesday 18th September 2024, Ugandan rapper Mozelo Kidz and...

    Big Eye Starboss confident of success December concert

    Singer Big Eye Starboss, real name Ibrahim Mayanja, is confident that his concert...

    More like this

    Mozelo Kidz and partner welcome baby girl

    On the night of Wednesday 18th September 2024, Ugandan rapper Mozelo Kidz and...