More
    HomeEntertainmentOmwana yeetugidde mu kaduukulu ka Poliisi

    Omwana yeetugidde mu kaduukulu ka Poliisi

    Published on

    spot_img


    Poliisi mu disitulikiti y’e Namutumba etandise okunoonyereza ku kyaviriddeko okufa kw’omwana James Mukama  eyasangiddwa nga yeetugidde mu kaduukulu k’ekkomera ku Mmande nga 27, March, 2023.


    Mukama James abadde asoma S2 ku somero lya Busembatia Secondary School mu kibuga kye Busembatia  mu disitulikiti y’e Bugweri nga yali yakwatibwa ku Lwokutaano nga 24, March, 2023 ku bigambibwa nti yabba amasepiki(2) ne ppaasipooti y’omu ku batuuze  mu kibuga kye Bugobi.

    Bridgette Nabudo muganda w’omugenzi agamba nti  bwe yabadde akyaddeko e Namutumba, yakizudde nti mugandawe Mukama yabadde akwatiddwa ku nsonga ezekuusa ku bubbi.


    Nabudo wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yabadde alina okugenda mu Poliisi, okulaba ku muganda we. Agamba nti yabadde amaze okufuna amawulire agalaga nti muganda we si muntu mubbi nga balinda kkooti okusalawo kyokka yafunye essimu okumutegeeza nti asangiddwa nga yeetugidde mu kaduukulu.

    Okunoonyereza kulaga nti Mukama abadde mulimi era abadde alima ebintu eby’enjawulo okunoonya ‘School fees’ okusoma.


    Mu kiseera kino aba famire bagamba nti banoonya bwenkanya, okutegeera engeri omuntu waabwe, gye yafiiridde mu kkomera.

    Omulambo gwa Mukama gwasindikiddwa mu ddwaaliro lye Namutumba okwekebejjebwa naye famire eremeddeko, eyagala okutegeera oba ddala Mukama yabadde mu kaduukulu ka Poliisi yekka ssaako n’okutegeera omusibe eyabadde ku mulimu kuba yalemereddwa okukola omulimu gwe, ekyavuddeko omwana okwetta.


    Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=T17xPvv4l_I




    Source link

    Latest articles

    Myco Chris returns with new love song ‘Wendi’ (Video)

    Myco Chris is back on the music scene with a brand new love...

    Zex Bilangilangi challenges An-Known to a musical duel

    The Ugandan music industry is no stranger to rivalries between artists. Recently, a...

    Reign’s near-death experience after false accusation of rape

    Stand-up comedian Obed Lubega a.k.a Reign Omusoyisoyi has shared a touching story of...

    Ugandan music industry stagnated, says Lil Pazo

    Singer Yasin Mukasa, known by the stage name Lil Pazo Lunabe, believes the...

    More like this

    Myco Chris returns with new love song ‘Wendi’ (Video)

    Myco Chris is back on the music scene with a brand new love...

    Zex Bilangilangi challenges An-Known to a musical duel

    The Ugandan music industry is no stranger to rivalries between artists. Recently, a...

    Reign’s near-death experience after false accusation of rape

    Stand-up comedian Obed Lubega a.k.a Reign Omusoyisoyi has shared a touching story of...