Omuteesiteesi omukulu, eyabadde akulembeddemu okutekateeka okwanjula kwa Najjuko Bushura, Hajji Kalema Hamidu Mulangira agamba nti abazadde okulemesa omwana okwanjula musajja we, y’emu ku nsonga lwaki yadduse, okulemesa emikolo okubaawo.
Hajji Kalema Hamidu Mulangira era nga ssentebe w’ekyalo Katereke, mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso, agamba nti mu kusooka, Najjuko, yaleeta omusajja mu bazadde be, wabula omusajja baamulemesa nti yalina enviri z’abalaasi era mbu yali muyaaye mu ndabika ye, nga ne mikwano gye baali basibye balansi w’empale.
Olw’abazadde okulemesa omusajja w’enviri, okuva olwo, Najjuko yali yakoowa eby’abasajja era mbu, famire yali yakola kyonna ekisoboka, okunoonya omusajja, kwe kuleeta Faruk Mugalu omutuuze we Kagoma.
Najjuko myaka 24, yabadde alina okwanjula Faruk mu bazadde, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 12, March, 2023 wabula yabula akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano nga 10, March, 2023 okutuusa olunnaku Olwokubiri nga 14, March, 2023 lwe yavuddeyo nga yebadde yeekwese ewa mukwano gwe e Makindye mu Kampala.
Okuvaayo, yatuukidde ku Poliisi e Nsangi, kwe kutegeeza nti abazadde okuleeta omusajja gwatayagala, y’ensonga lwaki yadduse okulemesa omukolo era ssentebe w’ekyalo Mulangira, alabudde abazadde okweddako.
Ate abatuuze bagamba nti wadde omukolo gwayiise, baasobodde okulya emmere yonna.
Abatuuze n’abo batabukidde eky’abazadde okunoonyeza omwana waabwe omusajja ku myaka gye 24.
Bagamba nti omwana alina okunoonya omuntu gwayagala nga kiswaza abazadde ate okuvaayo ku nsonga z’omwana waabwe, okunoonya omusajja.
Ate omusajja Faruk Mugalu agamba nti alina okunoonya Bushira ne famire yonna, okusalawo ekiddako.
Mugalu agamba nti wadde yasobodde okusasaanya ssente mpitirivu okutekateeka omukolo, alina okulowooza ku bulamu bwe ng’omuntu, okusalawo ekituufu ekiddako kuba ayinza okukola ensobi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5Wzg1ExQohc&t=72s