More
    HomeEntertainmentOkulwanyisa ebisiyaga, bibiino ebibonerezo ebikambwe

    Okulwanyisa ebisiyaga, bibiino ebibonerezo ebikambwe

    Published on

    spot_img


    Ababaka ba Palamenti ya Uganda bakyalinze Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuteeka omukono ku bbago ly’ebisiyaga eryayisiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri.


    Mu Palamenti eyabadde akubirizibwa sipiika Anita Annet Among, ababaka ba Palamenti abasukka 300, bawagidde ebbago nga bagamba nti kigenda kuyambako okutangira obuseegu okweyongera mu ggwanga.

    Ebbago lyaleeteddwa omubaka wa Monicipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa era yawagiddwa bangi ku babaka ba Palamenti.


    Mu bbago mulimu ebintu eby’enjawulo n’ ebibonerezo omuli

    Singa omuntu yenna akozesa omwana ali wansi w’emyaka 18 oba ng’alina siriimu oba nga waluganda lwe, alina kuttibwa.


    Singa omuntu yenna  agezaako okwenyigira mu kikolwa ekyo, emyaka 14.

    Okwenyigira mu kulya ebisiyaga n’omuntu yenna ali waggulu w’emyaka 18, asibwa mayisa.


    Singa omuntu yenna agezaako okwetaba mu kikolwa ekyo, asibwa emyaka 10.

    Singa bakwata omwana yenna nga yeenyigira mu bisiyaga, wakusibwa emyaka egitasukka 3.


    Okwenyigira mu bikolwa by’okulya ebisiyaga wadde mukaanyiza kati musango gwa naggomola mu Uganda.

    Singa okukusa omwana yenna, okumutwala mu bisiyaga, oli wakusibwa mayisa.


    Okutambuza obubaka ku mikutu egy’enjawulo omuli Face Book, WhatsApp n’emirala obukwata ku bisiyaga, oli wakusibwa emyaka 20.

    Nannyini kifo, webakolera ebikolwa ebyo, eby’okulya ebisiyaga wakusibwa emyaka egitaka wansi wa 10.

    Singa emikutu okuli Radio oba TV gyenyigira mu kutambuza ebisiyaga, bakugibwako layisinsi okumala emyaka 10 oba okusasula engasi eri mu kawumbi kamu.

    Ate singa owayiriza omuntu ku bisiyaga, oli wakusibwa omwaka mulamba mu kkomera.

    Ebbago lyayisiddwa era kati balinze Pulezidenti Museveni okusaako omukono.

    Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CKIHAiE4sh4&t=8s



    Source link

    Latest articles

    Hitboss Management Addresses Gloria Bugie’s Private Video Leak Scandal

    Hitboss Management, the label overseeing the career of upcoming singer Gloria Bugie has...

    Mozelo Kidz and partner welcome baby girl

    On the night of Wednesday 18th September 2024, Ugandan rapper Mozelo Kidz and...

    More like this

    Hitboss Management Addresses Gloria Bugie’s Private Video Leak Scandal

    Hitboss Management, the label overseeing the career of upcoming singer Gloria Bugie has...