More
    HomeEntertainmentOH NO! Omusomesa akwatiddwa ku by'okuyiira mukyala we asidi

    OH NO! Omusomesa akwatiddwa ku by’okuyiira mukyala we asidi

    Published on

    spot_img


    Ssemaka Rogers Ngobi myaka 26 akwatiddwa ku misango gy’okuyiira omukyala asidi.

    Ngobi, musomesa ku Eagles Nest secondary school, e Mmengo mu Kisenyi era mutuuze ku kyalo Namusera mu disitulikiti y’e Wakiso.

    Ngobi

    Olunnaku olw’eggulo, yayiiridde mukyala we Shallot Kwagala 30 n’abaana 2 asidi ne ssenga we.

    Abaana kuliko

    -Elvis Mukisa 6

    -Elijah Mununuzi 3

    -Ssenga Mwima Lovisa myaka 47

    Kwagala ng’alina olubuto myezi 5 yayokeddwa nnyo ku

    – Mutwe, ffeesi, amabeere, omugongo, n’ekiwato.

    Elvis Mukisa yayokeddwa mu ffeesi n’amaaso

    Lovisa Mwima (ssenga) yayokeddwa ku mukono gwa ddyo ate Elijah Mununuzi, asidi yamusamukidde.

    Kigambibwa, olukiiko lwatudde kyalo Kwagala mu Tawuni Kanso y’e Buyengo e Jinja, ogonjoola obutakaanya wabula baalemeddwa okukaanya olw’obutakaanya obuludde wakati waabwe.

    Kwagala ne Ngobi, babadde mukwano okuva mu November, 2023.

    Omukwate Ngobi ali ku kitebe kya Poliisi e Kakira ku misango gy’okwagala okutta abantu.

    James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, agamba nti Kwagala, abaana ne Ssenga bali mu ddwaaliro ekkulu e Buwenge naye Kwagala ali mu mbeera.

    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=JS4dtxGc6AE



    Source link

    Latest articles

    More like this