More
    HomeEntertainmentOH NO! Omukyala abadde asula n'omulambo gwa bba

    OH NO! Omukyala abadde asula n’omulambo gwa bba

    Published on

    spot_img

    Poliisi e Mukono ekutte omukyala Musimenta Ruth myaka 30 omukozi mu NJ Business Solutions ku misango gy’okutta bba.

    Musimenta abadde mukyala mufumbo eri Nsubuga James era kigambibwa baludde nga balina obutakaanya.

    Okunoonyereza kulaga nti mu kiro kya 17th – 18th May 2024, Musimenta yatta bba Nsubuga mu maka gaabwe ku kyalo Katikamu e Mpoma mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

    Musimenta yasobodde okweyambisa akambe okutunga bba Nsubuga mu bulago bwe yabadde yeebase.

    Omulambo gwa Nsubuga gwazuuliddwa mu nnyumba mu kisenge nga wayise ennaku 2 ku Ssande nga 19, May, 2024.

    Poliisi egamba nti omukyala Musimenta yabadde alina entekateeka z’okuziika omulambo okumpi ne kabuyonjo.

    Mu kwekebejja ennyumba, Poliisi yasobodde okuzuula akambe akagambibwa okweyambisibwa mu kutta omusajja.

    Ebintu ebirala, Poliisi yazudde engatto z’amaggye, emmundu ekika kya ttooyi Pisito eby’omugenzi.

    Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti omukyala alaga nti baludde nga balina obutakaanya wakati waabwe.

    Enanga agamba nti Musimenta bagenda kumutwala mu kkooti ku misango gy’okutta omuntu.

    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FTJvk_FSM3A

    Source link

    Latest articles

    Yasin Lubowa updates on health, requests financial aid

    Veteran actor Yasin Lubowa has provided an update on his ongoing health challenges,...

    Exodus launches campaign to combat mental health stigma

    Gospel singer Exodus has embarked on a campaign he baptized “Toli Wekka, Break...

    Spice Diana reveals plans for motherhood at the right time

    Spice Diana dreams and desires to have children but when? Describing them as...

    Daxx Kartel shares heartbreaking relationship experience

    Wizard Order Management singer Daxx Kartel, real name Sulaiman Ssebunya, opened up about...

    More like this