Mu disitulikiti y’e Kabale, Poliisi ekutte omusajja ssemaka ku misango gy’okutta mukwano gwe, gwe yakutte lubona ng’ali mu kaboozi ne mukyala we.

Ambrose Tumwekwase, nga mutuuze ku kyalo Mururinda mu ggoombolola y’e Kamuganguzi, yatwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kabale ku misango gy’okutta omuntu.
Tumwekwase yakutte James Rwekatarira, omutuuze ku kyalo kye kimu, mu kisenge kye ku kitanda kye, ng’ali ku kusinda mukwano ne mukyala we Vian Niwamanya.

Olw’obusungu, Tumwekwase yakutte ejjambiya, kwe kutematema omusiguze ku mutwe ne ffeesi era yafuuye omusaayi okutuusa lwe yafudde ate omukyala Niwamanya, eyabadde awadde omusiguze amatwale ga bba, yasobodde okudduka.
Okuva ku Ssande ekiro ku ssaawa nga 4, Tumwekwase abadde aliira ku nsiko okutuusa Poliisi bw’emukutte
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, avumiridde eky’okutwalira amateeka mu ngalo.
Maate era alabudde abasajja okweddako ku ky’okuganza bakabasajja, nga kivuddeko abantu bangi okuttibwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UEy_tgnHjhA