More
  HomeEntertainmentKITALO! Omukyala attiddwa mu bukambwe lwa kuzaala baana mu musajja omulala

  KITALO! Omukyala attiddwa mu bukambwe lwa kuzaala baana mu musajja omulala

  Published on

  spot_img


  Poliisi ebotodde ebyama wetuuse mu kunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa mu disitulikiti y’e Luweero sabiiti ewedde ku Lwokutaano, omukyala ne bamutta.


  Mu kiro, ekyakeese ku Lwokutaano abatuuze ku kyalo Bukomba mu disitulikiti y’e Luweero, baali mu kiyongobero, oluvanyuma lw’okuzuula nti famire y’abantu 4, yali ettiddwa.

  Abatibwa kwaliko omukyala Nagayi Aisha, abaana Namiiro Esther myaka 9, Mutebi Jonathan mwaka 1 n’ekitundu nga ssemaka Steven Musisi myaka 68, yasangiddwa nga yeetugidde kumpi n’omulyango, oguyingira mu kisenge.


  Ate abaana abato babiri (2) abalala okuli Namutebi Carlo myaka 7 ne Namuddu Cathy myaka 5, bakyali mu ddwaaliro e Luweero nga bali mu mbeera mbi.

  Wabula mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti ssemaka Musisi n’omukyala baludde nga balina obutakaanya olw’omusajja okuzuula nti omukyala yazaala abaana 2 ebbali kyokka nga bali mu makaage.


  Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti mu kiro, Musisi yakwata ejjambiya kwe kutematema omukyala n’abaana okutuusa lwe yabatta nga yali abatema ku mitwe.

  Ku kyalo Bukomba, babadde bakamalayo emyaka 4 nga baava ku kyalo Kikololomba e Busiika.


  Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, awanjagidde abantu okweyambisa Poliisi n’abakulembeze ku byalo okuyambibwa okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.

  Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bgQ4pynVBQQ
  Source link

  Latest articles

  Diamond Platnumz confirms Spice Diana collaboration

  Wasafi Records boss Naseeb Abdul Juma Issack alias Diamond Platnumz touched down...

  Nigeria’s Gezee releases new single — “Design”. Listen to it here!

  By Our ReporterNigerian singer, Gezee has just released a brand new single titled...

  More like this