More
    HomeEntertainmentGIWUNYE! Eyeeyita 'Yesu' akwatiddwa, agaanye okubalibwa

    GIWUNYE! Eyeeyita ‘Yesu’ akwatiddwa, agaanye okubalibwa

    Published on

    spot_img

    Poliisi mu disitulikiti  y’e Luweero eriko omusajja gw’ekutte nga yeeyita Yesu kisango gy’okugaana okubalibwa.

    Okuva wiiki ewedde ku Lwokutaano, Gavumenti eri kubala bantu mu ggwanga lyonna okutegeera obulungi omuwendo gw’abantu abali mu ggwanga.

    Wabula ku kyalo Luyima mu ggoombolola y’e Katikamu mu disitulikiti y’e Luweero, Navas Vella agamba nti yava mu ggulu, yabalibwa dda Katonda nga tewali nsonga yonna lwaki akkirizibwa okuddamu okubalibwa ku nsi.

    Yesu Vella, yakulembera enzikiriza ya Star Glopper Eden, God’s Kingdom era agamba nti enzikiriza yaabwe ewakanya entekateeka za Gavumenti zonna.

    Eva Menisha, nga mugoberezi wa Star Glopper Eden, agamba nti yabalibwa dda kuba ali mu Gavumenti ya Katonda nga tewali nsonga yonna lwaki addamu okubalibwa.

    Vella atwaliddwa ku Poliisi e Wobulenzi era agamba nti okutwalibwa ku Poliisi, kivvoola Gavumenti ya Katonda n’okumanyira Omutonzi.

    Daniel Kikonyogo, Ssentebe w’ekyalo Luyima agamba nti Vella ne banne baludde nga beeyisa mu ngeri ez’enjawulo era bagamba nti tebalina kiwandiiko kyonna wadde endaga muntu.

    John Ojokuna, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero agamba nti Vella agenda kutwalibwa mu kkooti essaawa yonna.

    Agamba kikyamu abantu nga Vella okutambuza enjiri y’obulimba, okulemesa abantu okutambulira mateeka.

    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1ZIWIjcFYj4

    Source link

    Latest articles

    Yasin Lubowa updates on health, requests financial aid

    Veteran actor Yasin Lubowa has provided an update on his ongoing health challenges,...

    Exodus launches campaign to combat mental health stigma

    Gospel singer Exodus has embarked on a campaign he baptized “Toli Wekka, Break...

    Spice Diana reveals plans for motherhood at the right time

    Spice Diana dreams and desires to have children but when? Describing them as...

    Daxx Kartel shares heartbreaking relationship experience

    Wizard Order Management singer Daxx Kartel, real name Sulaiman Ssebunya, opened up about...

    More like this