More
    HomeEntertainmentETTEMU! Wuuno omuyizi wa Yunivasite attiddwa mu bukambwe

    ETTEMU! Wuuno omuyizi wa Yunivasite attiddwa mu bukambwe

    Published on

    spot_img


    Poliisi y’e Kabale etandiise okunoonyereza ku ngeri omuyizi Sarah Naturinda myaka 20 gye yatiddwamu.


    Naturinda abadde muyizi ku Kabale University ng’asoma busomesa, mwaka ogwokubiri, era abadde mutuuze ku kyalo Kamukira Cell mu Monicipaali y’e Kabale.

    Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Poliisi y’e Kabale yafunye omusango gwa Naturinda okubula.


    Omusango, gwatwaliddwa ku Poliisi Landiloodi Turyatemba Charles nga kivudde ku taata w’omugenzi Ndanganwa Naris, omutuuze ku kyalo Bishaki e Kabale, okuggya okunoonya muwala we, oluvanyuma lw’okumala ennaku 2 nga tamuwuliza ku ssimu.

    Landiloodi nga yegaatiddwako abatuuze, batuuse ku muzigo, Naturinda mwabadde asula era okumenya oluggi, amaaso gatuukidde ku mulambo.


    Omulambo, gwasangiddwa ku kitanda nga yattibwa yeevunise, emikono gisibiddwa n’engoye ssaako n’akamwa n’ennyindo nga byonna bisibiddwa n’engoye.

    Wabula mu kunoonyereza, Poliisi efunye okutegeezebwa nti Naturinda abadde mu laavu n’omusajja Arinaitwe Denis era yakomwa okulabwako ng’ava mu nnyumba ku Ssande ku makya nga 19, omwezi guno Ogwokusatu, 2023 ku ssaawa ng’emu (1).


    Kigambibwa, Arinaitwe oluvanyuma lw’okutta Naturinda, kwe kulumba mukyala we omusirikale Komuhangi Caroline myaka 23 eyali yakamuzaalira omwana omu, gwe yakuba amasasi asatu (3) era ku Ssande ku makya era agaamutirawo ku Poliisi y’e Kabale.

    Arinaitwe oluvanyuma lw’okutta Komuhangi, kigambibwa yali ayagala kwetta, era yasangibwa nga naye ali mu mbeera nga yeekuba essasi ne limukwata ku nnyindo, okutuusa waggulu ku mutwe.


    Okunoonyereza kulaga nti Arinaitwe, yasobola okweyambisa emmundu ya mukyala we gye yali alese mu nnyumba okumutta, olw’obutakaanya wakati waabwe.

    Wadde mu kiseera kino Arinaitwe ali mu ddwaaliro ekkulu e Kabale okufuna obujanjabi, Poliisi agamba nti ku Ssande, yatta abantu 2


    Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agamba nti basawo bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwa Arinaitwe, okumutwala mu kkooti ku misango gy’okutta abakyala 2.

    Bambi omuyizi attiddwa

    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DHxnfVq_Bmk



    Source link

    Latest articles

    More like this