Kyaddaki Hannah Karema Tumukunde awangudde empaka z’obwannalulungi mu Uganda ez’omwaka 2023-2024 (Miss Uganda).
Hannah yalangiriddwa ng’omuwanguzi ku mukolo ogwabadde ku UMA Multipurpose Hall mu Kampala.
Empaka zetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli Elizabeth Bagaya, Anita Fabiola, Hellena Nabwiso, Dr Mitch Egwang, Capt Mike Mukula n’abayimbi omuli Levixone, B2C, Jakie Chandiru n’abalala.
Okuvuganya kwabaddemu abawala 20 kyokka zawanguddwa Hannah okuva mu Nakaseke Central era kati ye Nnalulungi wa Uganda.
Hannah agenda kudda mu bigere bya Elizabeth Bagaya eyawangula obwannalulungi nga 23, April, 2021.
Hannah kati agenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Nnalulungi w’ensi yonna (Miss World) ez’omulundi ogwa 71 e Dubia mu bitundu bye Karolina Bielawska mu May, 2023.
Okuwangula
Hannah yatuuse ku fayino n’abawala abalala bataano (5) okuli Jerusha Muwanguzi, Jesca Sserwadda, Whitney Martha Ademun, ne Prossy Agwang.
Mu kulangirira, Ademun Whitney Martha yakutte kyakusatu (2nd runners up) ate Prossy Agwang yamalidde mu Kyakubiri (1st runners up) era yawereddwa basale mu Uganda Aviation Academy.
Hannah yaweereddwa ebirabo eby’enjawulo olw’okuwangula empaka omuli emmotoka ekika Toyota Wish n’ebirala.
Direkita wa Miss Uganda, Brenda Nanyonjo awanjagidde Gavumenti okuvaayo okuyambako mu ntekateeka za Miss Uganda okusobola okugenda mu maaso.
Mungeri y’emu awanjagidde abawala okuvaayo okuvuganya mu mpaka, okwongera okwekiririzaamu.
Abalala abazze bawangula obwa Miss Uganda kuliko
Oliver Nakakande – 2019
Quiin Abenakyo – 2018
Leah Kagasa – 2016
Zahara Nakiyaga – 2015
Leah Kalanguka – 2014
Stellah Nantumbwe – 2013
Phiona Bizzu – 2012
Sylvia Namutebi – 2011
Heyzme Nansubuga – 2010 n’abalala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=fWgIDif6r9o&t=41s