More
    HomeEntertainmentBAMBI! Omukadde asimattuse ab’ebijjambiya mu kiro bamutemye omukono e Kassanda, Poliisi eyogedde

    BAMBI! Omukadde asimattuse ab’ebijjambiya mu kiro bamutemye omukono e Kassanda, Poliisi eyogedde

    Published on

    spot_img


    Poliisi eyingidde mu nsonga okunoonyereza ku kyaviriddeko abatemu okutematema abatuuze b’e Kassanda.

    Ku lw’omukaaga nga 25, March, 2023 Vicent Kasoma nga mutuuze ku kyalo  Buswa mu ggoombolola y’e Kassanda  y’omu ku baasimatuse abatemu era agamba nti abatemu baamenye oluggi ne bayingira enyumba ekiro era basaanze mukyala we  Justin Nabukalu ng’atudde  mu ddiiro kwekutandika okumutema wabula yakubye enduulu ng’akaaba era olwawulidde  emiranga kwe kudduka okuggya mu ddiiro okulaba ekituseewo wabula yatuukidde mu maaso g’abatemu nga batema mukyala we era bwe yabadde agezaako okutaasa, yatemeddwa ekiso ku mukono.

    Abatamu badduse oluvanyuma lw’okuwulira abatuuze nga baggya okutaasa mutuuze munaabwe.

    Abatuuze  baasobodde okutwala Kasoma ne Nabukalu mu ddwaaliro lya  Kassanda Health center IV okufuna obujanjabi obusokebwako oluvanyuma kwe kutwalibwa  mu ddwaaliro ekkulu e Mityana.

    Mu ngeri y’emu abatemu baakomyewo ku ssaawa (8) ez’ekiro ne balumba amaka g’omwami Richard Wasswa ku kyalo Kokoowe  ne bamutematema  era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Mityana.

    Akulira eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Kassanda Richard Tasobya agamba nti abatemu bakyalira ku nsiko naye poliisi ekola kyonna ekisoboka okubanoonya bavunaanibwe.

    Wakati mu kunoonyereza, Poliisi eyongedde okunyweza ebyokwerinda era ewanjagidde abatuuze abalina amawulire okuvaayo okuyambagana ne Poliisi okunyweza abatemu.

    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DHxnfVq_Bmk&t=271s

    Bya Nakimuli Emilly

    The post BAMBI! Omukadde asimattuse ab’ebijjambiya mu kiro bamutemye omukono e Kassanda, Poliisi eyogedde appeared first on Galaxy FM 100.2.



    Source link

    Latest articles

    More like this