More
    HomeEntertainmentAMAZIGA! Omukyala akutte mulamu we ng'asobya ku mwana

    AMAZIGA! Omukyala akutte mulamu we ng’asobya ku mwana

    Published on

    spot_img


    Maama akutte omusajja mulamu we ng’asobya ku muwala we mu nnyumba.
    Omuwala ali mu myaka 12, omusajja akwatiddwa lubona ng’amusobyako.
    Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta abantu omuli WhatsApp, omusajja yasobodde okutwala omwana mu nnyumba omutali bantu.
    Maama yasobodde okukwata vidiyo okulaga embeera yonna.
    Wakati mu maziga, maama alaga nti omusajja mulamu we era abadde asobya ku baana be okumala ebbanga.
    Agamba nti, “mulamu okola ki n’omwana wange, okolaki n’omwana wange, okola ki n’omwana wange, oyo omwana muto, oyo omwana muto mulamu, abaana bange obalanga lwa kuba simwe mubazaala mazima, tunuulira empale, obusajja bwonna buli bweru“.
    Mu vidiyo era omukyala asigadde yebuuza lwaki mulamu alemeddeko okwonoona abaana be kuba abadde abakozesa buli lunnaku.
    Mu Uganda, abasajja okusobya ku baana abato kweyongedde era omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, avuddeyo emirundi mingi okulabula ku nsonga ezo.
    Enanga agamba nti aba famire bakwata kisooka okusobya ku baana baffe.
    Kati wadde omukyala ali mu maziga, tekimanyiddwa oba yasobodde okuddukira ku Poliisi okuyambibwa kuba ogwo musango gwa naggomola.


    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DHxnfVq_Bmk




    Source link

    Latest articles

    More like this