More
    HomeEntertainmentAbagagga b'omu Kampala bawadde ab'omu Kiteezi essanyu

    Abagagga b’omu Kampala bawadde ab’omu Kiteezi essanyu

    Published on

    spot_img


    Abasuubuzi ba Kampala City Traders Association (KACITA) nga bali w’amu ne Ambasadda wa Namibia mu Uganda, Godfrey Kirumira baduukiridde abatuuze b’omu Lusanja – Kiteezi n’ebintu eby’enjawulo.

    Wali ku Kiteezi Primary School awali enkambi, baduukiridde abantu n’ebintu eby’enjawulo omuli Sooda, obuwunga, suukaali, ssabuuni, ensawo z’abaana abasoma, n’ebintu ebirala.

    Omugagga Kirumira, asobodde okuwa abaana 10 basale okusoma, n’okutandiika ttamu egenda okutandiika ey’okusatu..

    Ate  abasuubuzi ba KACITA nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Thadius Nagenda, bawadde abaana bona abaakosebwa mu Kiteezi, basale z’okusoma mu masomero ag’enjawulo.

    Bano, bagamba nti bagenda kusunsula abaana bokka abali mu ttenti olw’embeera oluvanyuma olwa Kasasiro okubumbulukuka wabula ssi baana b’omu kitundu g’abazadde balemereddwa okufuna School Fees.

    Issa Ssekito, omwogezi wa KACITA agamba nti abasuubuzi b’omu Kampala bavuddeyo, okuddamu okuwa abaana essuubi.

    Kasasiro yabuutikira abatuuze b’omu Lusanja – Kiteezi nga 10, August, 2024 era Poliisi n’abatuuze, bakazuula emirambo 35.

    Okunoonya emirambo gy’abantu abalala kugenda mu maaso nga kigambibwa abasukka 28 bakyanoonyezebwa.

    Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=knONqIUYrkM



    Source link

    Latest articles

    Gravity, Mikie Wine, Qing Madi and more

    Saturday night was action-packed with several top events happening at different venues nationwide....

    Bajjo faces health challenges ahead of coursework next week

    Towards the end of August, Events promoter Alfonse Andrew Mukasa a.k.a Bajjo Events...

    More like this

    Gravity, Mikie Wine, Qing Madi and more

    Saturday night was action-packed with several top events happening at different venues nationwide....

    Bajjo faces health challenges ahead of coursework next week

    Towards the end of August, Events promoter Alfonse Andrew Mukasa a.k.a Bajjo Events...