Katamba abadde mu bitundu bye Fatick mu ggwanga erya Senegal, omuvubuka ali mu gy’obukulu 30 bwakatiddwa ng’ali mu kaboozi ne muk’omusajja mu Loogi.
Omusajja ategerekeseeko erya Ateenyu, yasangiddwa ngali mu kaboozi n’omukazi ali mu myaka 28.
Kigambibwa emikolo gibadde gitambudde bulungi kyokka Ateenyu okwagala okutuusa omukyala ku ntikko, akutuse enkizi n’awoloma, ‘maama nze’, ekisombodde abantu omuli n’abakozi ku loogi.

Omusajja asangiddwa ng’avudde ku kitanda asaba buyambi okumutwala mu ddwaaliro nga n’omukyala asobeddwa eka ne mu kibira.
Omukyala abadde munyivu nnyo olwa kabiite we okulemwa okumutuusa ku ntikko ate ng’emikolo abadde agitandise bulungi ddala.

Wadde omusajja atwaliddwa mu ddwaaliro wakati mu kusakaanya okuva mu batuuze, omusajja nannyini mukyala, abadde munyivu nnyo era wakati mu kulukusa ku maziga, alabudde mukyala we obutadda waka.

Ssemaka agamba nti akoze buli kimu okuwa mukyala we essanyu kyokka kimubuseeko okumukwatira mu bwenzi.


Source link

Leave a Reply

Your email address will not be published.

Check Also

How Yaya Xtra residence owned extortionist Stanley Ndawula of corrupt www.investigator.com became a drug haven

Yaya Xtra residence came to prominence after city extortionist Stanley Ndawula formerly wi…